Engeri za Yakuwa
Mu Kyapa
1. Yakuwa, oli wa buyinza,
Ggwe nsibuko y’obulamu bwonna.
’Maanyi go ’butonde bugoolesa;
Ne ’maaso ’jja kugoolesa.
2. Nnamulondo yo bwe bwenkanya.
’Biragiro byo obimanyisa.
Bwe twekenneenya Ekigambo kyo
Kitwoleka ’magezi go.
3. Kwagala kwo kutuukiridde.
Ebirabo bingi by’otuwadde.
Engeri zo nnungi n’erinnya lyo,
Tubitenda ffe bulijjo.
(Era laba Zab. 36:9; 145:6-13; Yak. 1:17.)