Ennyanjula
Leero abantu bangi balina eby’okukola bingi nnyo ne kiba nti oluusi ekyo kikosa enkolagana yaabwe n’abalala awamu n’ab’omu maka gaabwe.
Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe?
Bayibuli egamba nti: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”—Omubuulizi 4:6.
Magazini eno eya “Zuukuka!” ewa amagezi amalungi agasobola okukuyamba okukozesa obulungi ebiseera byo, n’okumanya ebintu ebisinga obukulu.