Ddala Yokaana Omubatiza Yaliyo?
Ebitabo by’Enjiri byogera ku musajja ayitibwa Yokaana Omubatiza eyabuuliranga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Buyudaaya. Ddala Bayibuli by’eyogera ebikwata ku musajja oyo bituufu? Lowooza ku nsonga zino:
Bayibuli egamba nti: “Yokaana Omubatiza yajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya, ng’agamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Matayo 3:1, 2) Ebyo ebizuuliddwa biraga nti ekyo kituufu? Yee.
Munnabyafaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka ayitibwa Flavius Josephus yayogera ku musajja ayitibwa “Yokaana, Omubatiza,” “eyakubiriza Abayudaaya okubeera abatuukirivu,” “okwemalira ku Katonda,” ‘n’okubatizibwa.’—Jewish Antiquities, Book XVIII.
Bayibuli era egamba nti Yokaana yanenya Kerode Antipasi eyali afuga Ggaliraaya ne Pereya. Kerode yali yeeyita Muyudaaya eyali akwata Amateeka ga Musa. Yokaana yanenya Kerode olw’okuwasa Kerodiya muka muganda we. (Makko 6:18) Ng’oggyeeko Bayibuli, waliwo n’ebitabo ebirala ebyogera ku ekyo.
Munnabyafaayo ayitibwa Josephus yagamba nti Antipasi “[yagwa] mu mukwano ne Kerodiya,” era “Antipasi n’amugamba nti ayagala kumuwasa.” Kerodiya yakkiriza n’aleka omwami we n’afumbirwa Antipasi.
Bayibuli egamba nti: “Awo abantu b’omu Yerusaalemi, n’ab’omu Buyudaaya yenna, n’ab’omu bitundu byonna ebyetoolodde Yoludaani ne bagenda gy’ali [Yokaana], n’ababatiza mu Mugga Yoludaani, era ne baatula ebibi byabwe mu lujjudde.”—Matayo 3:5, 6.
Josephus naye agamba nti “ebibiina by’abantu” byajja okulaba Yokaana era nti “baakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yayigiriza.”
Munnabyafaayo oyo yali akikakasa nti Yokaana Omubatiza yaliyo, era naffe tuli bakakafu nti yaliyo.