Amagezi Agasobola Okuyamba Abakazi Abatulugunyizibwa
“ ABAKAZI n’abawala bukadde na bukadde okwetooloola ensi bayisibwa mu ngeri embi. Oli omu ku bo? Laba ensonga lwaki Katonda ayagala obe n’obukuumi era n’ekyo ky’anaakolawo okumalawo okutulugunyizibwa kw’abakazi.”
Ekitundu ku jw.org ekirina omutwe “Obukuumi eri Abakazi—Bayibuli ky’Egamba” kitandika n’ebigambo ebyo waggulu. Ku nkomerero y’ekitundu ekyo waliwo linki gy’osobola okukozesa n’owanula kopi esobola okukubibwa mu kyapa. Mwannyinaffe Stacy ow’omu Amerika agamba nti: “Nnawanula kopi z’ekitundu ekyo ne nzikubisa mu kyapa, era nze ne muganda wange ne tuzitwalira abakyala mu kifo ekimu awakuumirwa abakazi ababa baddukiddeyo olw’okutulugunyizibwa, ekiri mu kitundu ekibiina kyaffe mwe kibuulira.”
Omu ku bakozi b’ekifo ekyo, yasaba tumuwe kopi endala aziwe abakyala abalala. N’ekyavaamu twagaba kopi endala 40, awamu ne kaadi 30 eziragirira abantu ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Oluvannyuma omukyala eyali atwala ekifo ekyo yatusaba okulaga abakyala abaali mu kifo ekyo engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli.
Mwannyinaffe Stacy ne bannyinaffe abalala babiri nabo baagenda mu kifo ekirala awakuumirwa abakyala abo. Baagaba kopi ttaano ez’ekitundu ekyo, era n’endala nnyingi ne zisabibwa. Omu ku bakozi mu kifo ekyo yagamba nti: “Ebiri ku mpapula zino bijja kuyamba nnyo abakyala abali wano.” Ate era yagamba nti, “Tubyetaaga.” Bannyinaffe abo bwe baddayo omulundi omulala, bangi ku bakyala abaali mu kifo ekyo baakuŋŋaana okulaba engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli, era babiri ku bo baagamba nti bandyagadde okubaawo mu lukuŋŋaana lw’oku Ssande eddako ku Kizimbe ky’Obwakabaka.
Stacy agamba nti: “Kyatusanyusa nnyo okulaba nti abantu baali baagala okusoma ebiri mu kitundu ekyo. Ebiri mu kitundu ekyo byatuyamba okubuulira abakazi bano abaali batulugunyizibwa, amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Kyatusanyusa nnyo okulaba engeri abantu gye baakwatibwako nga basomye obubaka obwo bwe twabawa. Twesunga nnyo okulaba engeri Yakuwa gy’anaatuyambamu nga tweyongera okubuulira abakazi bano amawulire amalungi.