LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Okitobba lup. 32
  • Ebinaakuyamba Okusoma Bayibuli Buli Lunaku

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebinaakuyamba Okusoma Bayibuli Buli Lunaku
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Laba Ebirala
  • Engeri Gye Tuyinza Okukozesaamu eby’Okuwuliriza Ebiri ku Mukutu Gwaffe
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Okozesa Bulungi Bayibuli ey’Okuwuliriza eri ku Mukutu?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Okitobba lup. 32

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Ebinaakuyamba Okusoma Bayibuli Buli Lunaku

Oluusi kikuzibwalira okusoma Bayibuli buli lunaku olw’eby’okukola ebingi by’oyinza okuba nabyo? (Yos. 1:8) Bwe kiba kityo, ebintu bino wammanga bisobola okukuyamba:

  • Ssaawo ebikujjukiza buli lunaku. Tega alamu mu ssimu yo ekujjukize okusoma Bayibuli.

  • Teeka Bayibuli yo w’osobola okugirabira. Bw’oba okozesa Bayibuli enkube mu kyapa, giteeke w’osobola okugirabira buli lunaku.—Ma. 11:18.

  • Wuliriza Bayibuli eyasomebwa mu maloboozi. Wuliriza Bayibuli eyasomebwa ng’okola emirimu gyo. Mwannyinaffe Tara akola mu budde bw’ekiro, alina abaana, era aweereza nga payoniya agamba nti: “Bwe mba nkola emirimu gyange egy’awaka, mpuliriza Bayibuli eyasomebwa. Ekyo kinnyamba okuganyulwa mu ebyo ebiri mu Bayibuli buli lunaku.”

  • Toggwaamu maanyi. Embeera bw’etakusobozesa kusoma Bayibuli nga bwe wateekateeka, somayo waakiri ennyiriri ntonotono nga tonneebaka. Ne bw’osoma ennyiriri ntono buli lunaku, ojja kuganyulwa nnyo.—1 Peet. 2:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza