BY’OYINZA OKWESOMESA
Engeri gy’Oyinza Okujjukiramu Ebyawandiikibwa
Ebiseera ebimu okisanga nga kizibu okujjukira olunyiriri lwa Bayibuli lw’oyagala? Olunyiriri olwo luyinza okuba nga lukubudaabuda, nga lukuyamba okwewala ebirowoozo ebibi, oba ng’oyagala okulusomerako omuntu omulala. (Zab. 119:11, 111) Ebintu bino wammanga bisobola okukuyamba okujjukira Ebyawandiikibwa.
Kozesa JW Library® apu. Bw’oba osoma Bayibuli mu JW Library®, teekamu ttaaga ogituume “Ebyawandiikibwa Bye Nsinga Okwagala,” bw’ozuula ekyawandiikibwa ky’oyagala okujjukira kiteeke mu ttaaga eyo.
Teeka ekyawandiikibwa w’osobola okukirabira. Bw’obaako ekyawandiikibwa ky’oyagala okujjukira, kiwandiike ku kapapula okateeke w’osobola okukirabira buli w’oba oyagalidde. Abamu bateeka ebyawandiikibwa bye baagala okujjukira kumpi n’endabirwamu, abalala babiteeka ku firiigi. Ate abalala bakuba ekyawandiikibwa kye baagala okujjukira ekifaananyi ne bakiteeka ku ssimu oba ku kompyuta zaabwe we baba basobola okukirabira amangu.
Kola bukkaadi. Wandiika ekyawandiikibwa ky’oyagala okujjukira ku luuyi olumu olwa kaadi, ate ku luuyi olulala owandiikeyo ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyo. Oluvannyuma gezaako okutunuulira ekyawandiikibwa ekyo ojjukire ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyo, oba tunuulira ebigambo by’ekyawandiikibwa ekyo ogezeeko okujjukira wa we kiri mu Bayibuli.