LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Maayi lup. 32
  • Teekateeka Omutima Gwo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Teekateeka Omutima Gwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Laba Ebirala
  • Funa Omutima Ogusanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza Abayizi Baffe Okutegeka
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Okunoonya Yakuwa ng’Otegese Omutima Gwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Kuumanga Omutima Gwo
    Muyimbire Yakuwa
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Maayi lup. 32

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Teekateeka Omutima Gwo

Bwe tuba tusoma Bayibuli, tuba twagala ebyo bye tuyiga ku Yakuwa bikwate ku mitima gyaffe. Ezera yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. “Yateekateeka omutima gwe okunoonya Amateeka ga Yakuwa.” (Ezer. 7:10) Tuyinza tutya okuteekateeka omutima gwaffe?

Saba. Buli lw’oba ogenda okwesomesa, tandika na kusaba. Saba Yakuwa akuyambe okutegeera ebyo by’oba ogenda okusoma era n’okubikolerako.—Zab. 119:​18, 34.

Beera mwetoowaze. Abantu ab’amalala abeesiga amagezi gaabwe, Katonda abakweka amazima. (Luk. 10:21) Weewale okwesomesa ng’olina ekigendererwa eky’okuleetera abalala okukutwala nti omanyi nnyo. Endowooza yo bw’eba nga tekwatagana n’eya Katonda, weetoowaze ogikyuse.

Wuliriza olumu ku nnyimba zaffe. Ennyimba zikwata nnyo ku mitima gyaffe; zituyamba okweteekerateekera okusinza Yakuwa. Okuwuliriza olumu ku nnyimba zaffe ng’ogenda kutandika okwesomesa kiyinza okukuyamba okuteekateeka omutima gwo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza