LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w24 Ssebutemba lup. 32
  • Weesomese ng’Olina Ekigendererwa eky’Okubaako Ebipya by’Oyiga

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weesomese ng’Olina Ekigendererwa eky’Okubaako Ebipya by’Oyiga
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Alabirira Abantu Be
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Ganyulwa mu Bujjuvu mu Bintu Yakuwa by’Atuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Okweyigiriza Kuganyula
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Goberera Enkola Eyaweebwa Bakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Ssebutemba lup. 32

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Weesomese ng’Olina Ekigendererwa eky’Okubaako Ebipya by’Oyiga

Bwe tuba tweteekateeka okwesomesa tuyinza okwebuuza, ‘Kiki kye nsuubira okuyiga?’ Kyokka tulina okwegendereza bye tusuubira bireme okutulemesa okulaba ekyo Yakuwa ky’ayagala tuyige. Tuyinza tutya okussa ebirowoozo byaffe ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza?

Saba Yakuwa akuwe amagezi. Musabe akuyambe okumanya ekyo ky’ayagala oyige mu kiseera ekyo. (Yak. 1:5) Toba mumativu n’ebyo byokka by’omanyi.—Nge. 3:​5, 6.

Kkiriza Ekigambo kya Katonda kikolere mu bulamu bwo. “Ekigambo kya Katonda kiramu.” (Beb. 4:12) Buli lwe tusoma Bayibuli tubaako n’ekipya kye tuyiga era ekisobola okukyusa obulamu bwaffe. Naye ekyo okusobola okubaawo tulina okukkiriza nti twetaaga okumanya ebyo Katonda by’atuyigiriza.

Siima buli kimu Yakuwa ky’atuwa ku mmeeza ye. Emmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa eringa “ekijjulo eky’ebya ssava.” (Is. 25:6) Weewale obutalya “ebya ssava” by’osuubira nti tebijja kukuwoomera. Ng’oggyeeko okuba nti ojja kuganyulwa mu ebyo Yakuwa by’atuwa, era ojja kufuna essanyu lingi!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza