LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w24 Jjanwali lup. 32
  • Bye Tusobola Okukozesa mu Kwesomesa ne mu Kusinza kw’Amaka

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tusobola Okukozesa mu Kwesomesa ne mu Kusinza kw’Amaka
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Laba Ebirala
  • Enteekateeka Eganyula Amaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ebintu Bye Tusobola Okukola mu Kusinza kw’Amaka oba nga Twesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Tuyinza Tutya Okusinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Tendereza Yakuwa mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Jjanwali lup. 32

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Bye Tusobola Okukozesa mu Kwesomesa ne mu Kusinza kw’Amaka

Ng’oggyeeko okuba nti tusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe mu nkuŋŋaana ennene n’entono, era tumusinza kinnoomu era ng’amaka. Bino wammanga bye bimu ku ebyo by’oyinza okukozesa mu kwesomesa ne mu kusinza kw’amaka:

  • Tegeka ebitundu ebinaaba mu nkuŋŋaana. Ekyo kiyinza n’okuzingiramu okwegezaamu mu nnyimba n’okuyamba buli omu mu maka okuteekateeka ky’anaddamu mu lukuŋŋaana.

  • Soma ku muntu omu oba ku kintu ekimu ekyogerwako mu Bayibuli. Oluvannyuma kuba ku lupapula ekifaananyi ekyogera ku ebyo ebyaliwo, oba baako ky’owandiika ky’oyizeemu.

  • Mwekenneenye emu ku ssaala eziri mu Bayibuli, era mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gy’eyinza okubayambamu okulongoosa mu ssaala zammwe.

  • Mulabe emu ku vidiyo zaffe oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo, oba mubeeko bye muwandiika bye muyizeemu.

  • Mweteekereteekere omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, oboolyawo nga mwegezaamu.

  • Mwetegereze ebitonde era mubifumiitirizeeko, oba mukubaganye ebirowoozo ku ekyo kye bibayigiriza ku Yakuwa.a

a Laba ekitundu “Weeyongere Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa Okuyitira mu Bintu Bye Yatonda” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 2023.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza