Ogw’Okusoma
SSEBUTEMBA 2020
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: NOOVEMBA 2–DDESEMBA 6, 2020
© 2020 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
EKIFAANANYI KU DDIBA:
Bannyinaffe abanyiikivu, beenyigira mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira, bayambako mu kuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, era bafaayo ku bakkiriza bannaabwe (Laba ekitundu eky’okusoma 39, akatundu 1)