MAAKI 10-16
ENGERO 4
Oluyimba 36 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
Abakuumi abali ku bbugwe nga balagira abakuumi b’oku mulyango okuggala enzigi oluvannyuma lw’okulaba omulabe
1. “Kuumanga Omutima Gwo”
(Ddak. 10)
Ekigambo “omutima” kitegeeza ekyo omuntu ky’ali munda (Zb 51:6; w19.01 lup. 15 ¶4)
Tusaanidde okukuuma omutima okusinga ekintu ekirala kyonna (Nge 4:23a; w19.01 lup. 17 ¶10-11; lup. 18 ¶14; laba kungulu)
Okuba n’obulamu obweyagaza kati n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo kisinziira ku mbeera y’omutima gwaffe ogw’akabonero (Nge 4:23b; w12 7/1 lup. 32 ¶2)
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Nge 4:18—Olunyiriri luno lutuyamba lutya okutegeera engeri Omukristaayo gy’akulaakulanamu mu by’omwoyo? (w21.08 lup. 8 ¶4)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Nge 4:1-18 (th essomo 12)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. Omuntu akiraga nti ayagala okumanya ebisingawo oluvannyuma lw’okumuwa akapapula akamuyita ku Kijjukizo. (lmd essomo 1 akatundu 5)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Yita omuntu gw’omanyi okubaawo ku Kijjukizo. (lmd essomo 2 akatundu 3)
6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu
(Ddak. 5) Okulaga Ekyokulabirako. Ijwfq-E ekitundu 19—Omutwe: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakuza Ppaasika? (lmd essomo 3 akatundu 4)
Oluyimba 16
7. Ebikolebwa Ekibiina
(Ddak. 10)Mulabe VIDIYO Ebikolebwa Ekibiina eya Maaki.
8. Kaweefube w’Okuyita Abantu ku Kijjukizo wa Kutandika ku Lwomukaaga, Maaki 15
(Ddak. 5) Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Babuulire enteekateeka ekibiina kyammwe ze kikoze ezikwata ku kwogera okw’enjawulo, ku mukolo gw’Ekijjukizo, ne kaweefube ow’okuyita abantu. Bakubirize okwongera ku buweereza bwabwe mu mwezi gwa Maaki ne Apuli.
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 23 ¶16-19, akasanduuko ku lup. 214