LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Ssebutemba lup. 11
  • Yakuwa Ayamba abo Abaweddemu amaanyi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Ayamba abo Abaweddemu amaanyi
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yakuwa Asobola Okukuyamba nga Waliwo Ebikumalamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • “Okusemberera Katonda Kirungi” Gye Tuli!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Ssebutemba lup. 11

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Ayamba abo Abaweddemu amaanyi

Ebiseera ebimu ffenna tufuna ebitunakuwaza. Kyokka ekyo tekitegeeza nti tuba tuddiridde mu by’omwoyo. Bayibuli eraga nti ebiseera ebimu ne Yakuwa afuna ebimunakuwaza. (Lub 6:​5, 6) Naye watya singa tutera okufuna ebintu ebitunakuwaza ennyo oba ebitunakuwaza buli kiseera?

Saba Yakuwa akuyambe. Yakuwa afaayo nnyo ku ngeri gye tuwuliramu. Bwe tuba abasanyufu oba abanakuwavu, akimanya. Amanyi ensonga lwaki tuyinza okulowooza oba okuwulira mu ngeri emu. (Zb 7:9b) N’ekisingira ddala, Yakuwa atufaako era asobola okutuyamba okwaŋŋanga embeera ezituleetera okunakuwala oba okwennyamira.​—Zb 34:18.

Fuga ebirowoozo byo. Okulowooza ku bintu ebimalamu amaanyi kisobola okutumalako essanyu, era kisobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero, oba ekyo kye tuli munda.​—Nge 4:23.

MULABE VIDIYO BAKKIRIZA BANNAFFE ABALINA EMIREMBE KU MUTIMA WADDE NGA WALIWO EBIBENNYAMIZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Biki Nikki bye yakola ebyamuyamba ng’alina obulwadde obw’okwennyamira?

  • Lwaki Nikki yakiraba nti yali yeetaaga okulaba omusawo?​—Mat 9:12

  • Nikki yeesiga atya Yakuwa okumuyamba?

“Omunaala gw’Omukuumi” Na. 1 2023, erina omutwe “Obulwadde Obukosa Ebirowoozo​—Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okutuyambamu.”

Olina omuntu gw’omanyi ayinza okuganyulwa ng’asomye magazini y’Omunaala gw’Omukuumi Na. 1 2023?

Ebimu ku bye tuyinza okukola okukuuma ebirowoozo byaffe bye biruwa?

(Laba akasanduuko akalimu ebintu bye wandyagadde okweyongera okukola.)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza