LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Jjulaayi lup. 16
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Noovemba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli mu Ssebutemba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Enteekateeka Eneetusobozesa Okweyongera Okutendereza Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Jjulaayi lup. 16
Yesu ng’atudde ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu ng’afuga ensi.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!

Mu mwezi gwa Ssebutemba, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda, nti bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu. (Mat 24:14) Oyinza otya okwenyigira mu kaweefube oyo? Somera abantu bangi nga bwe kisoboka waakiri ekyawandiikibwa kimu ekikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omuntu bw’alaga okusiima ku mulundi ogusooka, muwe magazini y’Omunaala gw’Omukuumi Na. 2 2020. Fuba okumuddira amangu ddala nga bwe kisoboka, era ogezeeko okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo, basobola okuwaayo essaawa 15 oba 30.

“Omunaala gw’Omukuumi” Na. 2 2020, ogulina omutwe “Obwakabaka bwa Katonda kye Ki?”

Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuzikiriza obufuzi bw’abantu bwonna. (Dan 2:44; 1Ko 15:24, 25) N’olwekyo, ka tukozese akakisa kano okulaga nti twagala Yakuwa era nti tuwagira Obwakabaka bwe!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza