LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb23 Maaki lup. 13
  • Engeri y’Okukozesa Vidiyo Ezikwata ku Nteekateeka y’Okuyiga Bayibuli

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Engeri y’Okukozesa Vidiyo Ezikwata ku Nteekateeka y’Okuyiga Bayibuli
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Laba Ebirala
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Kozesa Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebirabwako era nga Biyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Ebirungi Ebiva mu Vidiyo Eziwa Obujulirwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Maaki lup. 13
Mwannyinaffe ng’alaga omukazi vidiyo, “Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?” ku ttabbuleeti.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Vidiyo Ezikwata ku Nteekateeka y’Okuyiga Bayibuli

Tulina vidiyo nnya ezikwata ku nteekateeka y’okuyigiriza abantu Bayibuli. Buli emu ku vidiyo ezo erina kigendererwa ki?

  • Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?​—Empanvu yategekebwa okuyamba abantu okwagala okuyiga Bayibuli ka babe ba ddiini ki. Ekubiriza abantu okunoonya mu Bayibuli eby’okuddamu mu bibuuzo bye beebuuza, era eraga ebimu ku by’okuddamu ebyo. Ate era ennyonnyola engeri omuntu gy’asobola okusaba okuyigirizibwa Bayibuli.

  • Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? (ennyimpi) erimu ebifaanana n’ebyo ebiri mu vidiyo empanvu, nayo yo yakendeezebwako. Yategekebwa okukozesebwa mu bitundu omuli abantu abatalina budde bungi bwa kuwuliriza.

  • Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? yategekebwa okuyamba abantu okutegeera enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere era eddamu ebimu ku bibuuzo bye bayinza okwebuuza ku nteekateeka eyo, nga mw’otwalidde n’engeri gye bayinza okusaba okuyigirizibwa Bayibuli.

  • Weebale Kukkiriza Kuyiga Bayibuli yategekebwa nga ya kulagibwa bayizi ba Bayibuli. Wadde nga vidiyo eyo eri ku lupapula olw’okubiri olw’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, tusobola okugiraga omuntu nga tukubaganya naye ebirowoozo ku brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe! Vidiyo eyo eraga ebiri mu kitabo, era n’ebyo omuyizi by’asaanidde okusuubira nga tukubaganya naye ebirowoozo.

Wadde nga buli emu ku vidiyo eyo yategekebwa olw’ekigendererwa ekimu, buli emu ku yo tusobola okugiraga omuntu oba okugimuweereza ekiseera kyonna lwe tulaba nga kituukirawo. Ababuulizi bonna bakubirizibwa okufuba okumanya ebiri mu vidiyo ezo era n’okuzikozesa obulungi mu buweereza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza