OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Ajjukira Bye Tukola nga Tumuweereza
Ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nti ebyo bye tukolera abalala tebisiimibwa, era byerabirwa mangu. Ate ebyo bye tukolera Yakuwa? Yakuwa Katonda teyeerabira ebyo bye tumukolera era abisiima. Ne bwe kiba nti embeera y’obulamu bwaffe tekyatusobozesa kukola bintu bimu, tayinza kutwerabira.—Beb 6:10.
MULABE VIDIYO, YAKUWA AJJUKIRA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ow’Oluganda Hibshman aweerezza atya Yakuwa n’obunyiikivu mu buweereza obutali bumu?
Yakuwa yajjukira atya ow’Oluganda Hibshman oluvannyuma lwa mukyala we okufa, era akiraze atya nti akyamujjukira ne mu kiseera kye eky’obukadde?
Mikisa ki ow’Oluganda Hibshman gy’afunye mu buweereza obw’ekiseera kyonna?—Nge 10:22