LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Ssebutemba lup. 7
  • Toterebuka ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Eby’Enfuna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Toterebuka ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Eby’Enfuna
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Katonda Wo Akutwala nti Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okukkiriza Kwo Kunaaba kwa Maanyi Kwenkana Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Kaabakuuku
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Ssebutemba lup. 7
Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Zimba Ennyumba Eneewangaala​—Beera ‘Mumativu n’Ebintu by’Olina.’” Ebifaananyi: 1. Ángel ng’asoma Bayibuli. 2. Lester ne mukyala we nga basomera wamu Bayibuli.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Toterebuka ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Eby’Enfuna

Obulamu mu nnaku ez’enkomerero bujjudde ebizibu. Ng’enkomerero egenda esembera, ebizibu bijja kweyongera. Tuyinza okwesanga ng’ebintu ebimu bye twetaaga tetubirina. (Kab 3:16-18) Kiki ekinaatuyamba obutaterebuka nga twolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna? Tulina okweyongera okwesiga Yakuwa Katonda waffe. Yasuubiza nti ajja kulabirira abaweereza be, era asobola okutulabirira ka tube mu mbeera ki.​—Zb 37:18, 19; Beb 13:5, 6.

Ky’oyinza okukola:

  • Saba Yakuwa akuwe obulagirizi n’amagezi, era musabe akuyambe.​—Zb 62:8

  • Ba mwetegefu okukola omulimu gwonna, wadde ng’oyinza okuba nga togukolangako.​—g 1/10 8-9, obusanduuko

  • Nnywerera ku nteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, omuli okwesomera Ekigambo kya Katonda buli lunaku, okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira

MULABE VIDIYO ZIMBA ENNYUMBA ENEEWANGAALA​—BEERA ‘MUMATIVU N’EBINTU BY’OLINA,’ OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Bizibu ki ab’omu maka agamu bye boolekagana nabyo?

  • Kintu ki ekisinga obukulu mu bulamu?

  • Tuyinza tutya okuyamba abo aboolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza