Ssebutemba 5-11
1 BASSEKABAKA 9-10
Oluyimba 10 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Tendereza Yakuwa olw’Amagezi Ge”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1Sk 10:10, 14—Bukakafu ki obulaga nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku bungi bwa zzaabu Kabaka Sulemaani gwe yalina tesavuwaza? (w08-E 11/1 lup. 22 ¶4-6)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1Sk 10:1-13 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe Vidiyo Omulundi Ogusooka: Okuyiga Bayibuli—Zab 37:29. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ennyanjula gye tukozesa mu kaweefube w’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli eri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 5) Tandika n’ennyanjula gye tukozesa mu kaweefube w’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli eri mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma otandike okumuyigiriza Bayibuli mu ssomo 01 erya brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Funa Amagezi Agasobola Okukuyamba mu Bulamu Obwa Bulijjo ku JW.ORG”: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Bakubirize okunoonyereza ku jw.org okusobola okufuna amagezi agasobola okubayamba mu bulamu obwa bulijjo.
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 7)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 18 akatundu 6-7 ne mu bufunze, okwejjukanya, n’eky’okukolako
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 106 n’Okusaba