LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Jjulaayi lup. 15
  • Weetegereza Engeri Essaala Zo Gye Ziba Ziddiddwamu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weetegereza Engeri Essaala Zo Gye Ziba Ziddiddwamu?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Engeri Yakuwa gy’Addamu Essaala Zaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yakuwa Anaddamu Okusaba Kwange?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Jjulaayi lup. 15
Mwannyinaffe ng’asaba. Atadde Bayibuli ye ku mmeeza.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weetegereza Engeri Essaala Zo Gye Ziba Ziddiddwamu?

Bayibuli erimu essaala nnyingi Yakuwa ze yaddamu. Abaweereza ba Yakuwa bwe baalabanga engeri Yakuwa gye yabanga azzeemu essaala zaabwe era n’engeri gye yabayambangamu, awatali kubuusabuusa, okukkiriza kwabwe kweyongera okunywera. N’olwekyo, kirungi okukoonera ddala ku nsonga nga tusaba Yakuwa era oluvannyuma ne tugezaako okwetegereza engeri gy’aba azzeemu okusaba kwaffe. Kijjukire nti essaala zaffe ayinza obutaziddamu nga bwe tusuubira, oba ayinza n’okutuwa ekisukka ku ekyo kye tuba tumusabye. (2Ko 12:7-9; Bef 3:20) Yakuwa ayinza kuddamu atya essaala zaffe?

  • Asobola okutuwa amaanyi ne tusobola okwaŋŋanga ekizibu kye tuba twolekagana nakyo.​—Baf 4:13

  • Asobola okutuwa amagezi ne tusalawo bulungi.​—Yak 1:5

  • Asobola okutwagazisa okubaako kye tukola era n’atuwa amaanyi okukikola.​—Baf 2:13

  • Asobola okutuwa emirembe mu mutima bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza.​—Baf 4:6, 7

  • Asobola okukozesa abalala okutuyamba n’okutuzzaamu amaanyi.​—1Yo 3:17, 18

  • Asobola okuyamba abo be tuba tusabidde.​—Bik 12:5, 11

MULABE VIDIYO, YAKUWA “AWULIRA OKUSABA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekyokulabirako ky’ow’Oluganda Shimizu kituzzaamu kitya amaanyi bwe tuba nga tetusobola kukola byonna bye twandyagadde kukola olw’obulwadde?

  • Tuyinza tutya okukoppa ow’Oluganda Shimizu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza