LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Maayi lup. 11
  • Fuga Okwegomba Kwo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Fuga Okwegomba Kwo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Okunywa Ssigala Katonda Akutwala Atya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Maayi lup. 11

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Fuga Okwegomba Kwo

Olw’okuba tetutuukiridde, kitwetaagisa okufuba ennyo okufuga okwegomba kwaffe. Singa tulemererwa okufuga okwegomba kwaffe, tuyinza okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabiriko, abamu balemererwa okwefuga bwe kituuka ku by’okulya, ennyambala, aw’okubeera, ne kiba nti baagala nnyo ebintu ebyo okusinga Katonda. Abalala bamenya emitindo gya Katonda olw’okwagala okukkusa okwegomba kwabwe okw’okwegatta. (Bar 1:26, 27) Ate abalala bakkiriza abalala okubaleetera okumenya amateeka ga Katonda olw’okuba baagala okwagalibwa.​—Kuv 23:2.

Tuyinza tutya okufuga okwegomba kwaffe? Tulina okufuba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo. (Mat 4:4) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okufuga ebirowoozo byaffe. Lwaki? Kubanga y’amanyi ekyo ekisingayo okutuganyula, n’engeri entuufu ey’okukkusaamu okwegomba kwaffe.​—Zb 145:16.

MULABE VIDIYO TOKKIRIZA BULAMU BWO KUSAANAWO, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  •  Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Tokkiriza Bulamu Bwo Kusaanawo.” Ddole zifuluma mu kkolero nga buli emu enywa ssigala.

    Lwaki abantu abamu banywa sigala?

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Tokkiriza Bulamu Bwo Kusaanawo.” Amawuggwe g’omunywi wa ssigala nga gakolola nnyo.

    Kiki ssigala ky’ayinza okukola ku bulamu bwo?

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Tokkiriza Bulamu Bwo Kusaanawo.” Omusajja omunene ennyo munnabyabusuubuzi ng’akutte eddobo agezaako okukwasa omuwala.

    Lwaki okunywa ssigala n’okunywa ebintu nga Shisha kikyamu?​—2Ko 7:1

  • Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Tokkiriza Bulamu Bwo Kusaanawo.” Omuwala ng’ayimiridde ku kasolya k’ennyumba ng’atunuulira enjuba.

    Osobola okwewala okunywa ssigala!

    Oyinza otya okwewala okutandika okunywa sigala oba okulekayo omuze gw’okunywa sigala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza