LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Maaki lup. 13
  • Ebizibu ka Bibe Bya Ngeri Ki, Ekiseera Kituuka ne Bikoma

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebizibu ka Bibe Bya Ngeri Ki, Ekiseera Kituuka ne Bikoma
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Atuyamba nga Twolekagana n’Ebizibu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Weeyongere Okugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Lindirira Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Maaki lup. 13
Ebifaananyi: Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Abantu Abali Obumu mu Nsi Erimu Enjawukana.” 1. Ab’oluganda ne bannyinaffe abaddugavu nga bali mu lukuŋŋaana olunene. 2. Abakadde abaddugavu n’abazungu awamu ne bakyala baabwe nga beekubya ekifaananyi. 3. Bannyinaffe babiri ab’emyaka egy’enjawulo, era abava mu mawanga ag’enjawulo, nga babuulira mu kifo eky’olukale.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ebizibu ka Bibe Bya Ngeri Ki, Ekiseera Kituuka ne Bikoma

Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, kyangu okuggwamu amaanyi naddala singa bimala ekiseera kiwanvu. Dawudi yali akimanyi nti ebizibu bye yali ayolekagana nabyo olwa Sawulo okumuyigganya, ekiseera kyandituuse ne bikoma era n’aba Kabaka nga Yakuwa bwe yasuubiza. (1Sa 16:13) Okukkiriza Dawudi kwe yalina kwamuyamba okuba omugumiikiriza n’okulindirira Yakuwa.

Bwe tuba nga twolekana n’ebizibu, tuyinza okukozesa amagezi, okumanya, n’obusobozi bw’okulowooza okutereeza embeera. (1Sa 21:12-14; Nge 1:4) Kyokka, ebizibu ebimu biyinza obutavaawo ne bwe tuba nga tukoze kyonna kye tusobola okubigonjoola nga tukozesa emisingi gya Bayibuli. Mu mbeera ng’eyo, tulina okuba abagumiikiriza n’okulindirira Yakuwa. Mu kiseera ekitali kya wala, aggya kumalawo okubonaabona kwonna kwe twolekagana nakwo era aggya “kusangula amaziga” mu maaso gaffe. (Kub 21:4) Ka kibe nti obuweerero bwe tufuna, tubufuna olw’okuba Yakuwa aba alina ky’akozeewo oba olw’ensonga endala, ekituufu kiri nti ebizibu ka bibe bya ngeri ki ekiseera kituuka ne bikoma. Ekyo bwe tukijjukira kituyamba okufuna obuweerero.

MULABE VIDIYO, ABANTU ABALI OBUMU MU NSI ERIMU ENJAWUKANA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Bizibu ki ab’oluganda abamu mu kitundu ekimu eky’Amerika bye baayolekagana nabyo?

  • Baayoleka batya obugumiikiriza n’okwagala?

  • Beeyongera batya okwemalira ku ‘bintu ebisinga obukulu’?—Baf. 1:10

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza