LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Maaki lup. 5
  • Engeri Ssatu Ze Tuyinza Okulagamu nti Twesiga Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Engeri Ssatu Ze Tuyinza Okulagamu nti Twesiga Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Osalawo Otya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Maaki lup. 5

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri Ssatu Ze Tuyinza Okulagamu nti Twesiga Yakuwa

Dawudi yawangula Goliyaasi olw’okuba yeesiga Yakuwa. (1Sa 17:45) Yakuwa ayagala okulaga amaanyi ge ku lw’abaweereza be bonna. (2By 16:9) Tuyinza tutya okulaga nti twesiga obuyambi Yakuwa bw’atuwa, mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwaffe oba obumanyirivu bwe tulina? Ka tulabe engeri ssatu ze tuyinza okukikolamu:

  • Sabanga obutayosa. Tokoma ku kusaba Yakuwa akusonyiwe oluvannyuma lw’okukola ekibi, wabula musabe akuyambe obutakola kibi ng’okemeddwa. (Mat 6:12, 13) Mu kifo ky’okusaba Yakuwa awe omukisa ekyo ky’oba omaze okusalawo, musabe akuwe obulagirizi n’amagezi nga tonnasalawo.​—Yak 1:5

  • Beera n’enteekateeka ennungi ey’okusoma Bayibuli n’okwesomesa. Soma Bayibuli buli lunaku. (Zb 1:2) Fumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli, era okolera ku ebyo by’obayigirako. (Yak 1:23-25) Bw’oba ogenda okubuulira oba okuyigiriza, weeteeketeeke mu kifo ky’okwesigama ku bumanyirivu bw’olina. Ate era weeteekereteekere enkuŋŋaana osobole okuziganyulwamu mu bujjuvu

  • Tambulira wamu n’ekibiina kya Yakuwa. Fuba okumanya obulagirizi obuba butuweereddwa ekibiina kya Yakuwa, era obukolereko mu bwangu. (Kbl 9:17) Kolera ku bulagirizi obuba butuweereddwa abakadde.​—Beb 13:17

Abasirikale nga batwala ow’oluganda okumusiba nga bannamawulire n’ab’oluganda abalala balaba.

MULABE VIDIYO, TETUSAANIDDE KUTYA KUYIGGANYIZIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

• Biki baganda baffe ne bannyinaffe abalagiddwa mu vidiyo bye baali batidde?

• Kiki ekyabayamba okuvvuunuka okutya kwe baalina?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza