Maaki 14-20
1 SAMWIRI 14-15
Oluyimba 89 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okuba Omuwulize Kisinga Ssaddaaka”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1Sa 15:24—Kiki kye tuyigira ku nsobi Sawulo gye yakola, ku bikwata ku kulaga ekisa? (it-1-E lup. 493)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1Sa 15:1-16 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okuddiŋŋana: Yesu—Mat 20:28. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 3)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Tandika okumuyigiriza Bayibuli era beera ng’amulaga vidiyo, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? (th essomo 11)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Mukolo gw’Ekijjukizo Ajja Kutandika ku Lwomukaaga, Maaki 19: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze yogera ku ebyo ebiri mu kapapula akayita abantu. Babuulire enteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku kwogera okw’enjawulo, ku mukolo gw’Ekijjukizo, era ne ku kugaba obupapula obuyita abantu. Mulabe vidiyo eraga ennyanjula y’akapapula ako era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Gondera Yakuwa: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 22 ¶1-9, vidiyo eyanjula essuula
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 10 n’Okusaba