LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Jjanwali lup. 9
  • Kiggiddwa mu vidiyo “Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okwewala Emikwano Emibi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Weeyongere Okufuna Essanyu mu Buweereza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Jjanwali lup. 9

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana

Okubaawo mu nkuŋŋaana kye kimu ku bintu ebikulu bye tukola mu kusinza okulongoofu. (Zb 22:22) Abo bonna abakuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa bafuna essanyu lingi n’emikisa. (Zb 65:4) Abayizi ba Bayibuli bakulaakulana mangu bwe baba nga babaawo mu nkuŋŋaana obutayosa.

Oyinza otya okuyamba abayizi bo aba Bayibuli okubaawo mu nkuŋŋaana? Weeyongere okubakubiriza okubaawo mu nkuŋŋaana. Balage vidiyo erina omutwe Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? Bannyonnyole emiganyulo gye bajja okufuna nga bazze mu nkuŋŋaana. (lff essomo 10) Osobola okubabuulirako ekintu ekimu kye wayize mu lukuŋŋaana, oba okubabuulira ebimu ku ebyo ebijja okuba mu lukuŋŋaana oluddako. Bawe obutabo obukozesebwa mu nkuŋŋaana. Ate era oyinza okubaako ky’okolawo okubayamba, gamba ng’okubayambako ku ntambula. Ojja kuwulira essanyu lingi ng’omuyizi wo azze mu nkuŋŋaana omulundi gwe ogusooka.​—1Ko 14:24, 25.

MULABE VIDIYO, YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKUBAAWO MU NKUŊŊAANA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana.” Anita ayita Shanita okubaawo mu nkuŋŋaana.

    Kakisa ki Anita ke yakozesa okuyita Shanita okubaawo mu nkuŋŋaana?

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana.” Anita asanyuse nga Shanita atudde naye mu nkuŋŋaana.

    Lwaki tufuna essanyu omuyizi wa Bayibuli bw’abaawo mu nkuŋŋaana?

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Yamba Abayizi Bo aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana.” Bannyinaffe nga babuuza ku Shanita oluvannyuma lw’enkuŋŋaana.

    “Ddala Katonda ali mu mmwe”

    Shanita yakwatibwako atya bwe yajja mu lukuŋŋaana lwe olwasooka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza