LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Jjanwali lup. 7
  • Yakuwa Atulaga Okwagala Okutajjulukuka

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Atulaga Okwagala Okutajjulukuka
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Yakuwa Akulaga Okwagala Okutajjulukuka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Butyabaga?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Koppa Okwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Yakuwa Ayagala Tube n’Okwagala Okutajjulukuka?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Jjanwali lup. 7
Ob’oluganda ne bannyinaffe abaakosebwa akatyabaga nga bayimiridde wabweru w’Emizimbe ky’Obwakabaka nga balina emmere ebaweereddwa.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Atulaga Okwagala Okutajjulukuka

Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo. (Is 43:4) Yakuleeta gy’ali n’eri ekibiina kye. Olw’okuba weewaayo era n’obatizibwa, kati oli wa Yakuwa. Akufaako era akutwala nti oli wa muwendo nnyo gy’ali ne mu biseera ebizibu. Ajja kukulaga okwagala okutajjulukuka okuyitira mu kibiina kye.​—Zb 25:10.

Tusobola okweyongera okusiima engeri Yakuwa gy’atulagamu okwagala okutajjulukuka nga twetegereza engeri ekibiina kye gye kidduukiriramu abo ababa bakoseddwa obutyabaga.

MULABE VIDIYO, LIPOOTA Y’AKAKIIKO K’ABO ABAKWANAGANYA EYA 2019, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo “Lipoota y’Akakiiko k’Abo Abakwanaganya eya 2019.” Ab’oluganda okuva mu Kakiiko Akakola ku Kudduukirira Abakoseddwa Obutyabaga nga boogera n’ab’oluganda abakozeddwa akatyabaga.

    Akakiiko k’Abo Abakwanaganya kateeseteese katya ofiisi z’amatabi okwetooloola ensi okusobola okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo “Lipoota y’Akakiiko k’Abo Abakwanaganya eya 2019.” Ab’oluganda nga baddamu okuzimba ennyumba eyayonoonebwa akatyabaga mu Indonesia.

    Ekibiina kya Yakuwa kyawa kitya obulagirizi era kyadduukirira kitya abo abaakosebwa obutyabaga mu Indonesia ne mu Nigeria?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo “Lipoota y’Akakiiko k’Abo Abakwanaganya eya 2019.” Omusawo mu Afirika ng’akebera omulwadde.

    Okwatibwako otya bw’olowooza ku ngeri ekibiina kya Yakuwa gye kikuttemu ekirwadde kya COVID-19?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza