Noovemba 22-28
EKYABALAMUZI 1-3
Oluyimba 126 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Ekikolwa Ekyoleka Obuvumu”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Bal 2:10-12—Ebyogerwako mu nnyiriri zino tubiyigirako ki? (w05 3/1 lup. 8 ¶7)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Bal 3:12-31 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
“Weeyongere Okufuna Essanyu mu Buweereza—Ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa Okuyitira mu Kusaba”: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa—Okusaba.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lffi essomo 02, ennyanjula n’akatundu 1-3 (th essomo 11)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Weeyise Bulungi mu Buweereza: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma bwe kiba kisoboka, yita abaana be wateeseteese bajje ku siteegi obabuuze ebibuuzo bino: Tuyinza tutya okweteekateeka nga tugenda okubuulira? Endabika yaffe esaanidde kubeera etya nga tugenda mu buweereza? Tuyinza tutya okweyisa obulungi nga tuli mu buweereza?
“Ebinaatuyamba Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Lukuŋŋaana lw’Okugenda Okubuulira”: (Ddak. 10) Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Saba abawuliriza boogere ku nsonga lwaki kikulu okutuuka ng’olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira terunnatandika.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 16 ¶9-13, akas. 16A
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 29 n’Okusaba