LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb21 Maaki lup. 9
  • Tokoppa Abo Abatali Beesigwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tokoppa Abo Abatali Beesigwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Laba Ebirala
  • ‘Ggwe Mwesigwa Wekka’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Ddala Kirimu Emiganyulo Okuba Omwesigwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Tuteekwa Okugondera Abo Yakuwa b’Awadde Obuyinza
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Yakuwa Mwesigwa era Asonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Maaki lup. 9
Ettaka lyeyawulamu ne limira Abayisirayiri abaali abajeemu.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tokoppa Abo Abatali Beesigwa

Koola, Dasani, ne Abiraamu baalaga nti si beesigwa eri Yakuwa bwe baajeemera enteekateeka ye. Yakuwa yazikiriza abajeemu abo awamu n’abo bonna abaali babawagira. (Kbl 16:26, 27, 31-33) Mbeera ki eziyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa? Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli ebiyinza okutuyamba obutakoppa abo abatali beesigwa?

MULABE VIDIYO, TOKOPPA ABO ABATAALI BEESIGWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Tokoppa Abo Abataali Beesigwa.’ Nadia akuba akafaananyi ng’omuvubuka amuwa omwenge ku kabaga k’abantu abataweereza Katonda.

    Mbeera ki eyagezesa Nadia, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Tokoppa Abo Abataali Beesigwa.’ Ow’oluganda anyiize afumiitiriza ku kizibu ekimutawaanya.

    Mbeera ki eyagezesa ow’oluganda eyali aweddemu amaanyi, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Tokoppa Abo Abataali Beesigwa.’ Tomasi akuba akafaananyi ng’ayogera ne mwannyinaffe eyagattululwa n’omwami we mu kifo awasimba emmotoka ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

    Mbeera ki eyagezesa Tomasi, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Tokoppa Abo Abataali Beesigwa.’ Ow’oluganda omuvubuka atunula ku ssimu okukebera linki gye bamuweerezza emutwala ku mukutu gye bakubira zzaala.

    Mbeera ki eyagezesa ow’oluganda ng’ali ku ssomero, era kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekyamuyamba okusigala nga mwesigwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza