Maaki 15-21
OKUBALA 11-12
Oluyimba 46 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Lwaki Tusaanidde Okwewala Okwemulugunya?”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kbl 11:7, 8—Engeri emmaanu gye yali efaananamu n’engeri gye yali ewoomamu byalaga bitya obulungi bwa Yakuwa? (it-2-E lup. 309)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Kbl 11:1-15 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuyita Abantu ku Kijjukizo: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Nnyinimu bw’alaga okusiima, beera ng’amulaga vidiyo, Okujjukira Okufa kwa Yesu, era oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 11)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3) Ddayo eri omuntu eyalaga okusiima era eyakkiriza akapapula akayita abantu ku Kijjukizo. (th essomo 4)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Omukolo ogw’Ekijjukizo nga guwedde, yogera n’omuntu azze ku mukolo ogwo, era oddemu ekibuuzo ky’abuuzizza ekikwata ku mukolo ogwo. (th essomo 2)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Weeteekerateekera Omukolo gw’Ekijjukizo?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Babuulire enteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku Mukolo gw’Ekijjukizo. Mulabe vidiyo, Engeri y’Okukolamu Omugaati ogw’Oku Kijjukizo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 6 ¶7-13, akas. 6A
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 70 n’Okusaba