LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb21 Jjanwali lup. 3
  • Abazadde, Muteeketeeke Abaana Bammwe nga Bukyali

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abazadde, Muteeketeeke Abaana Bammwe nga Bukyali
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Laba Ebirala
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • “Abaana Busika Okuva eri Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Abaana Baffe—Busika bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Jjanwali lup. 3
Abaana beegezaamu okugamba nti ‘Nedda!’ nga bazadde babatendeka engeri gye bayinza okwekuumamu.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abazadde, Muteeketeeke Abaana Bammwe nga Bukyali

Tuli mu nsi omuli abantu abatwala ekirungi okuba ekibi n’ekibi okuba ekirungi. (Is 5:20) Abantu bangi bakola ebikolwa Yakuwa by’akyawa nga mw’otwalidde ebikolwa eby’obugwenyufu gamba ng’okulya ebisiyaga. Abaana baffe bayinza okupikirizibwa bannaabwe be basoma nabo oba abantu abalala okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo eby’obugwenyufu. Oyinza otya okuteekateeka abaana bo ne basobola okwaŋŋanga embeera ng’eyo n’ebigezo ebirala?

Yamba abaana bo okumanya emitindo gya Yakuwa. (Lev 18:3) Okusinziira ku myaka gyabwe, bayambe okumanya ekyo Bayibuli ky’eyogera ku by’okwegatta. (Ma 6:7) Weebuuze: ‘Njigirizza abaana bange engeri entuufu ey’okwolekamu okwagala, obukulu bw’okwambala mu ngeri esaana, n’okumanya abo be bakolagana nabo we balina okukoma? Abaana bange bamanyi eky’okukola singa omuntu agezaako okubalaga ebifaananyi eby’obuseegu oba abagamba okukola ekintu Yakuwa ky’akyawa?’ Okubateekateeka nga bukyali kisobola okubayamba okwewala ebizibu. (Nge 27:12; Mub 7:12) Bwe muyigiriza abaana bammwe, muba mulaga nti musiima eky’obusika kye mwafuna okuva eri Yakuwa.​—Zb 127:3.

MULABE VIDIYO, ZIMBA ENNYUMBA ENEEWANGAALA​—KUUMA ABAANA BO BALEME KUTUUKIBWAKO KABI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘‘Zimba Ennyumba Eneewangaala​—Kuuma Abaana Bo Baleme Kutuukibwako Kabi.’ Maama ne mutabani we balaba vidiyo erina omutwe, ‘Kuuma Abaana Bo.’

    Lwaki abazadde abamu balonzalonza okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘‘Zimba Ennyumba Eneewangaala​—Kuuma Abaana Bo Baleme Kutuukibwako Kabi.’ Abazadde nga basoma n’abaana baabwe babiri ekitabo, ‘Yigira ku Muyigiriza Omukulu’ n’ebitabo ebirala.

    Lwaki abazadde basaanidde okutendeka abaana baabwe mu “kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa”?​—Bef 6:4

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘‘Zimba Ennyumba Eneewangaala​—Kuuma Abaana Bo Baleme Kutuukibwako Kabi.’ Abazadde ababeera mu Afirika nga bakubaganya ebirowoozo n’abaana baabwe ku byawandiikibwa.

    Amagezi kya bukuumi

    Bintu ki ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta?​—w19.05 lup. 12, akasanduuko

  • Lwaki musaanidde okwogeranga n’abaana bammwe buli lunaku ng’ebizibu tebinnabaawo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza