EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 33-34
Engeri za Yakuwa Ezisikiriza
Olw’okuba Musa yali amanyi bulungi engeri za Yakuwa, kyamuyamba okuba omugumiikiriza ng’akulembera Abayisirayiri. Naffe bwe tweyongera okutegeera obulungi engeri za Yakuwa, kijja kutuyamba okulaga bakkiriza bannaffe ekisa.
‘Musaasizi era wa kisa’: Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be era abafaako, ng’omuzadde bw’afaayo ku baana be
“Alwawo okusunguwala”: Yakuwa agumiikiriza obutali butuukirivu bw’abaweereza be, era abawa ekiseera okukola enkyukakyuka
“Alina okwagala kungi okutajjulukuka”: Yakuwa alaga abaweereza be okwagala okutajjulukuka emirembe gyonna
WEEBUUZE, ‘Nnyinza ntya okuba omusaasizi era ow’ekisa nga Yakuwa?’