EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 23-24
Togobereranga Abangi
Okulabula Yakuwa kwe yawa abajulizi n’abalamuzi obutatwalirizibwa bantu bangi ne bawa obujulizi obw’obulimba oba ne basala omusango mu ngeri etali ya bwenkanya, kukwata ne ku mbeera endala ez’obulamu. Abantu abataweereza Yakuwa bapikiriza Abakristaayo okugoberera endowooza n’enneeyisa etakwatagana na mitindo gya Katonda.—Bar 12:2.
Lwaki si kya magezi kugoberera abangi bwe
tuwulira ebintu ebitaliiko bukakafu oba olugambo?
tuba tulonda eby’okwambala, emisono gy’enviiri, oba eby’okwesanyusaamu?
tuba tukolagana n’abantu abali obulungi mu by’enfuna, abatali bulungi mu by’enfuna, n’ab’amawanga ag’enjawulo?