Agusito 10-16
OKUVA 15-16
Oluyimba 149 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Tendereza Yakuwa Okuyitira mu Nnyimba”: (Ddak. 10)
Kuv 15:1, 2—Musa n’abasajja Abayisirayiri baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa (w95 11/1 lup. 4 ¶11)
Kuv 15:11, 18—Yakuwa agwana okutenderezebwa (w95 11/1 lup. 5 ¶15-16)
Kuv 15:20, 21—Miriyamu n’abakazi Abayisirayiri baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa (it-2-E lup. 454 ¶1; lup. 698)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 16:13—Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaleetera Yakuwa okuwa Abayisirayiri obugubi nga bali mu ddungu? (w11-E 9/1 lup. 14)
Kuv 16:32-34—Ensumbi eyalimu emmaanu yaterekebwanga wa? (w06 2/1 lup. 27)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 16:1-18 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Linda akozesezza atya obulungi ebibuuzo? Annyonnyodde atya obulungi ekyawandiikibwa?
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma beera ng’amulaga vidiyo Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? era mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Tendereza Yakuwa ng’Oweereza nga Payoniya”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Bannyinaffe Basatu mu Mongolia. Buuza ebibuuzo ow’oluganda oba mwannyinaffe aweereza nga payoniya owa bulijjo oba eyali aweerezzaako nga payoniya owa bulijjo. Mubuuze ebibuuzo bino: Kusoomoozebwa ki kw’oyolekaganye nakwo? Mikisa ki gy’ofunye?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 127, akas. “Ekibanja ky’Omusaayi”
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 16 n’Okusaba