LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Jjulaayi lup. 7
  • Yakuwa Akuuma Abantu Be

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa Akuuma Abantu Be
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Olaba “Oyo Atalabika”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Weeyongere Okukolera ku Bulagirizi bwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Jjulaayi lup. 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Akuuma Abantu Be

Omuyisirayiri ne mutabani we basiiga omusaayi ku mwango gw’ennyumba yaabwe.

Embaga ey’Okuyitako eyasooka yali nkulu nnyo. Mu kiro ekyo, Falaawo bwe yakitegeera nti mutabani we omubereberye afudde, yagamba Musa nti: “Musituke muve mu bantu bange, mmwe n’Abayisirayiri abalala. Mugende muweereze Yakuwa nga bwe mwagamba.” (Kuv 12:31) Yakuwa yali akiraze nti akuuma abantu be.

Ebyafaayo by’abantu ba Yakuwa ab’omu kiseera kino biraga nti Yakuwa akyeyongera okubawa obulagirizi era n’okubakuuma. Ebyafaayo ebyo bisangibwa mu myuziyamu eyitibwa “Abantu Abayitibwa Erinnya lya Yakuwa” eri ku kitebe kyaffe ekikulu.

MULABE VIDIYO, OKULAMBULA MYUZIYAMU ZAFFE EZIRI E WARWICK: “ABANTU ABAYITIBWA ERINNYA LYA YAKUWA,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ebifaananyi ebyaggibwa mu firimu ya ‘Photo-Drama of Creation.’

    Kiki Abayizi ba Bayibuli kye baakozesa ku ntandikwa y’omwaka gwa 1914 okuyamba abantu okweyongera okukkiririza mu Bayibuli, era birungi ki ebyavaamu?

  • Ebifaananyi by’ab’oluganda abaasibibwa mu 1918.

    Kugezesebwa ki okwaliwo mu 1916 ne 1918, era bukakafu ki obulaga nti Yakuwa yali awa ekibiina kye obulagirizi?

  • Ebifaananyi ebiri mu myuziyamu ebiraga ab’oluganda abaasibibwa olw’okukkiriza kwabwe. Enzigi ezigguddwawo okulaga ekisenge ekiriko ekifaananyi ekiraga ensi empya.

    Abantu ba Yakuwa basigadde batya nga beesigwa nga bayigganyizibwa?

  • Ebifaananyi ebiri mu myuziyamu ebiraga engeri z’okubuulira ezaakozesebwanga mu myaka gya 1930 n’egya 1940.

    Nkyukakyuka ki mu ngeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa abantu ba Yakuwa gye baafuna mu 1935, era ekyo kyabakwatako kitya?

  • Kiki ky’olabye mu vidiyo ekyongedde okukukakasa nti Yakuwa awa abantu be obulagirizi era nti abakuuma?

Okumanya by’oyinza okukola okulambula myuziyamu eyo, genda ku jw.org® wansi w’ekitundu, Ebitukwatako

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza