LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Apuli lup. 7
  • “Muggyeewo Bakatonda Abalala”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • “Muggyeewo Bakatonda Abalala”
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize?
    Zuukuka!—2017
  • Weemalire ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yayoleka Obuvumu n’Akuuma ab’Omu Maka Ge
    Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Apuli lup. 7
Omusajja asuula eky’omubulago ekirina akakwate n’eby’obusamize.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Muggyeewo Bakatonda Abalala”

Yakobo yali akimanyi nti Yakuwa ayagala abantu okumwemalirako, wadde nga Yakuwa yali tannassaawo tteeka ligaana kusinza bifaananyi. (Kuv 20:3-5) Yakuwa bwe yamugamba okuddayo e Beseri, Yakobo yalagira ab’omu nnyumba ye bonna okweggyako ebibumbe bya bakatonda abalala. Oluvannyuma Yakobo yabiziika, nga mw’otwalidde n’eby’oku matu oboolyawo bye baakozesanga mu kusinga bakatonda abo. (Lub 35:1-4) Awatali kubuusabuusa, ekyo Yakobo kye yakola kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa.

Leero, tuyinza tutya okukiraga nti twemalidde ku Yakuwa? Tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekirina akakwate n’okusinza ebifaananyi oba eby’obusamize. Ekyo kizingiramu n’okweggyako eby’okwesanyusaamu ebirimu eby’obusamize. Ng’ekyokulabirako, weebuuze nti: ‘Nnyumirwa okusoma ebitabo oba okulaba firimu ezirimu vampaya, obulogo, oba obufuusa? Eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu ng’ebyo biragibwa ng’ebitalina mutawaana gwonna.’ Naye tusaanidde okwewalira ddala ekintu kyonna Yakuwa ky’akyawa.​—Zb 97:10.

MULABE VIDIYO, “MUZIYIZENGA OMULYOLYOMI,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Omwana yeebase ku buliri ng’ayambadde ensiriba ku mukono. Emabega, maama we ayogera n’abafumbo abamuyigiriza Bayibuli.

    Kizibu ki omuyizi wa Bayibuli ayitibwa Palesa kye yalina?

  • Abafumbo n’omuyizi waabwe basisinkanye abakadde babiri babayambe.

    Lwaki kya magezi okusaba abakadde batuyambe bwe wabaawo atawaanyizibwa badayimooni?

  • Omuyizi ayokya ensiriba y’omwana we.

    Ziyiza Omulyolyomi, era semberera Katonda.​—Yak 4:7, 8

    Bintu ki abo abaagala obukuumi bwa Yakuwa bye balina okweggirako ddala?

  • Kiki Palesa kye yasalawo okukola?

  • Mu kitundu ky’obeeramu, kiki ky’oyinza okukola okwewala okulumbibwa badayimooni?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza