EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 24
Okufunira Isaaka Omukazi
Omuweereza wa Ibulayimu yasaba Yakuwa amuwe obulagirizi ng’agenda okufunira Isaaka omukazi. (Lub 24:42-44) Naffe tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tetunnasalawo ku nsonga yonna. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
Nga tusaba Yakuwa
Nga tunoonyereza mu Kigambo kya Katonda ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa
Nga twebuuza ku Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo