Febwali 10-16
OLUBEREBERYE 15-17
Oluyimba 39 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Lwaki Yakuwa Yatuuma Ibulaamu ne Salaayi Amannya Amalala?”: (Ddak. 10)
Lub 17:1—Wadde nga Ibulaamu yali tatuukiridde, yali asobola obutabaako kya kunenyezebwa (it-1-E lup. 817)
Lub 17:3-5—Ibulaamu yatuumibwa Ibulayimu (it-1-E lup. 31 ¶1)
Lub 17:15, 16—Salaayi yatuumibwa Saala (w09-E 2/1 lup. 13)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 15:13, 14—Emyaka 400 egy’okubonyaabonyezebwa gyatandika ddi era gyakoma ddi? (it-1-E lup. 460-461)
Lub 15:16—Mu ngeri ki bazzukulu ba Ibulayimu gye baddayo mu nsi ya Kanani “mu mulembe ogw’okuna”? (it-1-E lup. 778 ¶4)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 15:1-21 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omubuulizi akozesezza atya obulungi ebibuuzo? Lwaki ekyokulabirako ky’akozesezza kibadde kituukirawo?
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe brocuwa Amawulire Amalungi, era otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa essomo 3. (th essomo 6)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Engeri Abafumbo Gye Bayinza Okunyweza Obufumbo Bwabwe”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Engeri Gye Muyinza Okunyweza Obufumbo Bwammwe.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 103
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 92 n’Okusaba