Febwali 3-9
OLUBEREBERYE 12-14
Oluyimba 14 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Endagaano Ekukwatako”: (Ddak. 10)
Lub 12:1, 2—Yakuwa yasuubiza okuwa Ibulaamu (Ibulayimu) omukisa (it-1-E lup. 522 ¶4)
Lub 12:3—“Okuyitira mu [Ibulayimu] ebika byonna eby’oku nsi biriweebwa omukisa” (w89-E 7/1 lup. 3 ¶4)
Lub 13:14-17—Yakuwa yalaga Ibulayimu ensi bazzukulu be gye bandisikidde (it-2-E lup. 213 ¶3)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 13:8, 9—Tuyinza tutya okukoppa Ibulayimu nga tugonjoola obutategeeragana? (w16.05 lup. 5 ¶12)
Lub 14:18-20—Mu ngeri ki Leevi gye “yawaayo ekimu eky’ekkumi okuyitira mu Ibulayimu”? (Beb 7:4-10; it-2-E lup. 683 ¶1)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 12:1-20 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okuggyayo Ensonga Enkulu, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 14 erya brocuwa Okuyigiriza.
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w12-E 1/1 lup. 8—Omutwe: Kiki Ekyafuula Saala Okuba ow’Omuwendo? (th essomo 14)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Biki Bye Tuyinza Okuyiga mu Nnyimba Ezifulumira mu Programu za Buli Mwezi?”: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo y’oluyimba olulina omutwe, Binaatera Okutuuka.
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 5)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 102
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 15 n’Okusaba