EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 3-5
Ebizibu Ebyava mu Bulimba Obwasooka
Okuva Sitaani lwe yalimbalimba Kaawa, azze abuzaabuza abantu. (Kub 12:9) Obulimba buno Sitaani bw’atumbula bulemesa butya abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
Tewali Katonda omuyinza w’ebintu byonna
Katonda ali mu busatu era tategeerekeka
Katonda talina linnya
Katonda abonyaabonya abantu mu muliro ogutazikira
Buli ekibaawo Katonda y’aba ayagadde kibeewo
Katonda tafaayo ku bantu
Obulimba obwo obwogerwa ku Katonda bukuleetera kuwulira otya?
Oyinza otya okuggya enziro ku linnya lya Katonda?