OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okweyisa Obulungi n’Okuwa Abalala Ekitiibwa Muvaamu Emiganyulo
Abakyala abafuuka abaweereza ba Yakuwa batera okusikiriza abaami baabwe okuyiga amazima olw’empisa zaabwe ennungi. Kyokka ng’ekyo tekinnabaawo, kiyinza okubeetaagisa okugumira ebizibu okumala emyaka mingi. (1Pe 2:21-23; 3:1, 2) Bw’oba ng’oyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, weeyongere okuwangula ebintu ebibi ng’okola ebirungi. (Bar 12:21) Okweyisa obulungi kiyinza okuvaamu ebirungi okusinga ebigambo by’oyogera.
Gezaako okweteeka mu bigere bya munno mu bufumbo. (Baf 2:3, 4) Yoleka ekisa n’obusaasizi, era kola kyonna ky’osobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo. Muwulirize bulungi. (Yak 1:19) Beera mugumiikiriza, era mukakase nti omwagala nnyo. Wadde nga munno mu bufumbo takulaga kisa oba takuwa kitiibwa, beera mukakafu nti Yakuwa asiima obwesigwa bwo.—1Pe 2:19, 20.
MULABE VIDIYO, YAKUWA ATUWA AMAANYI NE TUSOBOLA OKUGUMIRA EBIZIBU BYAFFE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Embeera yali etya nga Grace Li yaakafumbirwa?
Kiki ekyamusikiriza okuyiga amazima?
Kiki ekyayamba mwannyinaffe Li okugumira ebizibu bye yafuna nga yaakabatizibwa?
Kiki mwannyinaffe Li kye yasaba Yakuwa ekikwata ku mwami we?
Mikisa ki mwannyinaffe Li gye yafuna olw’okweyisa obulungi n’okussaamu omwami we ekitiibwa?
Okweyisa Obulungi n’okuwa abalala ekitiibwa muvaamu ebirungi!