OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo
‘Naaba mu ngalo. Siimula ennyumba. Yera oluggya. Yokya kasasiro.’ Abazadde bangi bayigiriza abaana baabwe okuba abayonjo. Yakuwa y’atuwa emisingi egikwata ku buyonjo. (Kuv 30:18-20; Ma 23:14; 2Ko 7:1) Bwe tukuuma emibiri gyaffe n’ebintu byaffe nga biyonjo, kiweesa Yakuwa ekitiibwa. (1Pe 1:14-16) Ate amaka gaffe n’ebifo ebirala? Okwawukana ku bantu abalala abasuulasuula kasasiro ku nguudo ne mu bifo ebirala, Abakristaayo bafuba okukuuma ensi nga nnyonjo. (Zb 115:16; Kub 11:18) N’okumala gasuula obuntu obutonotono gamba ng’akaveera ka swiiti, obucupa, oba bologaamu, kiyinza okulaga nti tetufaayo ku buyonjo. Mu buli mbeera yonna, twagala ‘tukirage nti tuli baweereza ba Katonda.’—2Ko 6:3, 4.
MULABE VIDIYO, KATONDA AYAGALA ABANTU ABAYONJO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Nsonga ki abamu ze bayinza okwekwasa obutayonja bintu byabwe?
Amateeka ga Musa gaayoleka gatya endowooza Yakuwa gy’alina ku buyonjo?
Tuyinza tutya okuwa obujulirwa ku Yakuwa nga tewali kye twogedde?
Nnyinza ntya okwoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku buyonjo mu bulamu bwange?