Jjulaayi 8-14
1 ABASSESSALONIKA 1-5
Oluyimba 90 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Muzziŋŋanengamu Amaanyi era Muzimbaganenga”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya 1 Abassessalonika.]
1Se 5:11-13—Mwagale nnyo abo ababakulembera era mubalage ekisa (w11 6/15 lup. 26 ¶12; lup. 28 ¶19)
1Se 5:14—Mubudeebude abennyamivu, era muyambe abanafu (w17.10 lup. 10 ¶13; w15 2/15 lup. 9 ¶16)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
1Se 4:3-6—Oyo eyeenyigidde mu kikolwa eky’obugwenyufu aba ‘ayisizza atya bubi muganda we’? (it-1-E lup. 863-864)
1Se 4:15-17—Baani ‘abalikwakkulirwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga,’ era ekyo kiribaawo kitya? (w15 7/15 lup. 18-19 ¶14-15)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) 1Se 3:1-13 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kukuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kukuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 4)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bapayoniya Abazzaamu Abalala Amaanyi: (Ddak. 9) Mulabe vidiyo, Bapayoniya Basobola Okuyamba Abalala. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Bapayoniya bayinza batya okuzzaamu abalala mu kibiina amaanyi? Bapayoniya bakuzzizzaamu batya amaanyi?
Ebyokulabirako Ebituzzaamu Amaanyi: (Ddak. 6) Mulabe vidiyo, Tulina ‘Okudduka n’Obugumiikiriza’—Koppa Abo Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kizibu ki mwannyinaffe kye yalina? Kiki kye yakola okusobola okuzzibwamu amaanyi?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 74
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 100 n’Okusaba