EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABEEFESO 1-3
Engeri Yakuwa gy’Addukanyaamu Ebintu
Engeri Yakuwa gy’addukanyaamu ebintu ye nteekateeka gy’alina ey’okugatta awamu ebitonde bye byonna ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.
Ateekateeka abaafukibwako amafuta okugenda okubeera mu ggulu ne Yesu Kristo
Ateekateeka abo abanaabeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Masiya
Biki bye nnyinza okukola okusobola okukuuma obumu bw’ekibiina kya Yakuwa?