Noovemba 12-18
EBIKOLWA 1-3
Oluyimba 104 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Omwoyo Omutukuvu Gufukibwa ku Kibiina Ekikristaayo”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo Ennyanjula y’Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.]
Bik 2:1-8, 14, 37, 38, 41—Oluvannyuma lw’abayigirizwa ba Yesu okufukibwako omwoyo omutukuvu, baabuulira ne kiviirako abantu nga 3,000 okubatizibwa
Bik 2:42-47—Abayigirizwa ba Yesu baayoleka omwoyo omugabi n’ogw’okusembeza abagenyi, ne kisobozesa abaali baakabatizibwa okusigala mu Yerusaalemi, okukkiriza kwabwe kusobole okunywezebwa (w86-E 12/1 lup. 29 ¶4-5, 7)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 3:15—Lwaki Yesu ayitibwa “Omubaka Omukulu ow’obulamu”? (it-2-E lup. 61 ¶1)
Bik 3:19—Olunyiriri luno lulaga lutya engeri Yakuwa gy’asonyiwamu abo ababa beenenyezza? (cl lup. 265 ¶14)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 2:1-21
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) it-1-E lup. 129 ¶2-3—Omutwe: Lwaki Baalonda Omuntu Omulala Okudda mu Kifo kya Yuda, ne Batakola Kye Kimu ku Batume Abalala Abaafa nga Beesigwa?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okukolera Awamu Okusobola Okubuulira mu Kitundu Omuli Abantu Aboogera Ennimi Endala”: (Ddak. 15) Kitundu kya kukubaganya birowoozo, nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo. Yogera ku nteekateeka ze mukoze okubuulira abantu aboogera ennimi endala.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 43 ¶1-7
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 68 n’Okusaba