Noovemba 5-11
YOKAANA 20-21
Oluyimba 35 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Onjagala Okusinga Bino?”: (Ddak. 10)
Yok 21:1-3—Yesu bwe yamala okufa, Peetero n’abayigirizwa abalala baddayo ku mulimu gwabwe ogw’okuvuba
Yok 21:4-14—Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yalabikira Peetero n’abayigirizwa abalala
Yok 21:15-19—Yesu yayamba Peetero okutegeera ebintu by’asaanidde okukulembeza (“Yesu n’agamba Simooni Peetero” ne “onjagala okusinga bino?” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 21:15, nwtsty; “omulundi ogw’okusatu” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 21:17, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Yok 20:17—Ebigambo ebiri mu lunyiriri luno Yesu bye yagamba Maliyamu Magudaleena, birina makulu ki? (“Lekera awo okunneekwatako” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 20:17, nwtsty)
Yok 20:28—Lwaki Tomasi yayita Yesu nti “Mukama wange era Katonda wange”? (“Mukama wange era Katonda wange!” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 20:28, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yok 20:1-18
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 79 ¶21-22—Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 15)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 42
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 45 n’Okusaba