LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb18 Agusito lup. 7
  • Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Laba Ebirala
  • Kuuma Obumu mu Kibiina
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Temwesittaza “Bato Bano”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Agusito lup. 7
Yesu ayigiriza abagoberezi be

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ne Muganda Wo Yesu Yamufiirira

Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’aboonoonyi. (Bar 5:8) Tusiima nnyo okwagala Yesu kwe yatulaga n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe. Kyokka oluusi tuyinza okwerabira nti ne baganda baffe Yesu yabafiirira. Baganda baffe ne bannyinaffe abatatuukiridde nga ffe, tuyinza tutya okubalaga okwagala nga Yesu kwe yatulaga? Ka tulabeyo engeri ssatu. Esooka, baganda baffe abaakulira mu mbeera ez’enjawulo ku zaffe, nabo tusaanidde okubafuula mikwano gyaffe. (Bar 15:7; 2Ko 6:12, 13) Ey’okubiri, tusaanidde okwewala okwogera oba okukola ebintu ebiyinza okwesittaza abalala. (Bar 14:13-15) Ey’okusatu, omuntu bw’atukola ekibi, tusaanidde okuba abeetegefu okumusonyiwa. (Luk 17:3, 4; 23:34) Bwe tufuba okukoppa Yesu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa ekibiina kyeyongere okuba obumu, era kibeemu emirembe.

MULABE VIDIYO, WEEYONGERE OKULUNGIWA! OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Miki nga bamwaniriza mu kibiina ekipya

    Miki bwe yasengukira mu kibiina ekipya, yawulira atya mu kusooka?

  • Miki ab’omu kibiina abamu bamunyiizizza

    Kiki ekyamuleetera okulowooza nti tebakyamufaako?

  • Wadde Yesu yasanga abatume beebase, teyabakambuwalira

    Ekyokulabirako kya Yesu kyayamba kitya Miki okukyusa endowooza ye? (Mak 14:38)

  • Miki asese ng’akaana kamutomedde eby’okunywa bye ne bimuyiikira

    Ebiri mu Engero 19:11 biyinza bitya okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza bannaffe?

EKY’OKUFUMIITIRIZAAKO:

Waliwo mukkiriza munnange gwe nsibidde ekiruyi kyokka nga kye yankola nsobola okukibuusa amaaso?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza