EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 10-11
Olugero lw’Omusamaliya Omulungi
Yesu yawa olugero luno ng’addamu ekibuuzo omusajja omu kye yamubuuza nti, “Muliraanwa wange y’ani?” (Luk 10:25-29) Yesu yali akimanyi nti ekibiina Ekikristaayo kyandibaddemu “abantu aba buli kika,” nga mw’otwalidde Abasamaliya n’ab’Amawanga. (Yok 12:32) Okuyitira mu lugero olwo, Yesu yayigiriza abagoberezi be nti basaanidde okwagala abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okuba ab’enjawulo ennyo ku bo.
WEEBUUZE:
‘Baganda bange ne bannyinaze ab’amawanga amalala mbatwala ntya?’
‘Obudde obusinga obungi mbumala n’abo bokka abalina bye tufaanaganya?’
‘Nsobola okugaziwa mu mutima gwange ne nfuba okumanya Bakristaayo bannange abava mu mbeera ez’enjawulo?’ (2Ko 6:13)
Ani gwe nsobola okuyita ajje . . .
tukoleko ffembi mu buweereza?
tuliireko wamu naye?
atwegatteko mu Kusinza kw’Amaka okuddako?