LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb18 Jjuuni lup. 8
  • Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Laba Ebirala
  • “Abaana Busika Okuva eri Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Jjuuni lup. 8
Yusufu ne Maliyamu bakozesa eky’ek’emisana okuyigiriza Yesu n’abaana baabwe abalala

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa

Abazadde abaagala Yakuwa baagala nnyo abaana baabwe bafuuke abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa, nga babayigiriza ebimukwatako okuviira ddala mu buto. (Ma 6:7; Nge 22:6) Wadde ng’ekyo kyetaagisa okufuba ennyo, ebivaamu biba birungi.​—3Yo 4.

Abazadde balina bingi bye bayinza okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu. ‘Buli mwaka baagendanga e Yerusaalemi ku mbaga ey’Okuyitako,’ wadde ng’ekyo kyali kyetaagisa okufuba ennyo. (Luk 2:41) Baakulembezanga ebyetaago by’ab’omu maka gaabwe eby’eby’omwoyo. Mu ngeri y’emu, abazadde basobola okuyamba abaana baabwe nga bakozesa buli kakisa okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa, era nga babateerawo ekyokulabirako ekirungi.​—Zb 127:3-5.

OBADDE OKIMANYI?

Wadde nga baganda ba Yesu baakulira mu maka agaagala Yakuwa, tebaamukkiririzaamu okutuusa lwe yazuukizibwa. (Yok 7:5; Bik 1:14) Oluvannyuma, ababiri ku bo, Yakobo ne Yuda, baawandiika ebitabo bya Bayibuli ebiyitibwa amannya gaabwe.

MULABE VIDIYO, BAAKOZESA BULI KAKISA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ow’oluganda ne Mwannyinaffe Schiller baakulembeza batya eby’omwoyo nga bakuza abaana baabwe?

  • Lwaki abazadde basaanidde okuyigiriza, okuwabula, n’okukangavvula buli mwana mu ngeri ya njawulo?

  • Abazadde bayinza batya okuteekateeka abaana baabwe basobole okwaŋŋanga ebiyinza okugezesa okukkiriza kwabwe?

  • Ku bintu ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa, biruwa by’okozesa okuyamba abaana bo okukulaakulana mu by’omwoyo?

Amaka g’Ow’oluganda Schiller

Mukulembeze eby’omwoyo mu maka gammwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza