Apuli 30–Maayi 6
MAKKO 5-6
Oluyimba 151 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yesu Asobola Okuzuukiza Abantu Baffe Abaafa”: (Ddak. 10)
Mak 5:38—Tunakuwala nnyo bwe tufiirwa omuntu gwe twagala
Mak 5:39-41—Yesu asobola okuzuukusa abo ‘abeebase’ mu kufa (“tafudde, wabula yeebase“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 5:39, nwtsty)
Mak 5:42—Okuzuukira okw’omu biseera eby’omu maaso kujja kutuleetera ‘essanyu lingi’ (jy lup. 118 ¶6)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mak 5:19, 20—Lwaki ku luno Yesu yagamba omusajja ono okubuulira abalala bye yali amukoledde? (“Genda . . . obabuulire“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 5:19, nwtsty)
Mak 6:11—Kitegeeza ki ‘okwekunkumulako enfuufu ku bigere’? (“mwekunkumulangako enfuufu ku bigere byammwe“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 6:11, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 6:1-13
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma mulage omukutu jw.org.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Weerondere ekyawandiikibwa eky’okukozesa, n’ekibuuzo ky’onoolekawo.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 36 ¶23-24—Laga engeri y’okutuuka ku mutima gw’omuyizi.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Kozesa Bulungi Ebyo bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu Bayibuli”: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo.
Tubudaabudibwa mu Kibiina kya Yakuwa: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Bizibu ki ow’oluganda ne mwannyinaffe Pera bye baafuna? Biki ebibayambye okugumiikiriza? Lwaki tusaanidde okunywerera ku nteekateeka yaffe ey’eby’omwoyo nga tulina ebizibu?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 19 ¶1-9
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 72 n’Okusaba