Apuli 2-8
MATAYO 26
Oluyimba 19 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okuyitako n’Ekijjukizo—Bye Bifaanaganya ne Bye Bitafaanaganya”: (Ddak. 10)
Mat 26:17-20—Yesu yakwata embaga ey’Okuyitako eyasembayo ng’ali wamu n’abatume be (nwtsty “Embaga ey’okuyitako“ ekifaananyi ekiraga ebiri mu Mat 26:18, nwtsty)
Mat 26:26—Omugaati oguyisibwa ku mukolo gw’Ekijjukizo gukiikirira omubiri gwa Yesu (“gukiikirira“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:26, nwtsty)
Mat 26:27, 28—Envinnyo eyisibwa ku mukolo gw’Ekijjukizo ekiikirira ‘omusaayi gwa Yesu ogw’endagaano’ (“omusaayi gwange . . . ogw’endagaano“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:28, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mat 26:17—Lwaki Nisaani 13 lwali luyitibwa ‘olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse’? (“Ku lunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:17, nwtsty)
Mat 26:39—Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Yesu okusaba nti: “Nzigyaako ekikopo kino”? (“nzigyaako ekikopo kino“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 26:39, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mat 26:1-19
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 59 ¶21-22 n’ebyongerezeddwako
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 8)
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Ekinunulo: (Ddak. 7) Mulabe vidiyo. Oluvannyuma, yita abaana be wateeseteese bajje ku siteegi obabuuze ebibuuzo bino: Lwaki abantu balwala, bakaddiwa, era ne bafa? Kiki Yakuwa kye yatusuubiza? Ani gw’oyagala okulaba mu nsi empya?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 15
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 74 n’Okusaba