LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb17 Ddesemba lup. 5
  • Ekitundu Ekipya mu Lukuŋŋaana Olwa Wakati mu Wiiki

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ekitundu Ekipya mu Lukuŋŋaana Olwa Wakati mu Wiiki
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Laba Ebirala
  • Kabaka Ayingira Yerusaalemi ng’Ali ku Mwana gw’Endogoyi
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • A7-G Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe mu Yerusaalemi (Ekitundu 1)
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Yakuwa Akitwala nga Kikulu bw’Ogamba nti “Amiina”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Ddesemba lup. 5
Enjiri ya Matayo mu Bayibuli ya New World Translation gye tukozesa mu kwesomesa eri ku Intaneeti

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ekitundu Ekipya mu Lukuŋŋaana Olwa Wakati mu Wiiki

Okutandika ne Jjanwali 2018, olukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki lujja kubangamu ekitundu ekinaabanga kyesigamiziddwa ku Bayibuli gye tukozesa mu kwesomesa eya New World Translation of the Holy Scriptures (nwtsty-E), eri ku mukutu gwaffe. Wadde nga Bayibuli ey’okukozesa mu kwesomesa tetunnagifuna mu lulimi lwaffe, ekitundu ekyo kijja kutuyambanga nnyo mu kutegeka enkuŋŋaana. N’ekisinga obukulu, kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, Kitaffe alina amagezi amangi n’okwagala.

EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA

Ekitundu kino kijja kutuyamba okwongera okutegeera embeera y’ekitundu ekyogerwako, obuwangwa bw’abantu aboogerwako, n’amakulu g’ebigambo ebimu ebiri mu Bayibuli.

Matayo 12:20

Olutambi oluzimeera: Ettaala ezaakozesebwanga awaka zaakolebwanga mu bbumba, era baakozesanga amafuta g’ezzeyituuni okuzaakisa. Mu ttaala ezo baateekangamu olutambi olwasikanga amafuta ettaala n’eyaka. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “olutambi oluzimeera” kiyinza okuba nga kitegeeza olutambi olwanyookanga ng’omuliro gw’ettaala gunaatera okuzikira oba nga guzikidde. Obunnabbi obuli mu Isaaya 42:3 obukwata ku Yesu, bulaga nti olw’okuba Yesu musaasizi, n’essuubi ettono ennyo abantu abawombeefu era abanyigirizibwa lye baalina yandibadde talizikiza.

Matayo 26:13

Mazima: Mu Luyonaani, a·menʹ, ekyava mu kigambo ky’Olwebbulaniya ʼa·menʹ, ekitegeeza nti “kibe bwe kityo.” Yesu yakozesa nnyo ekigambo ekyo okukikkaatiriza nti ebigambo bye yabanga agenda okwogera, ekisuubizo oba obunnabbi, birina okutuukirira era byesigika. Kigambibwa nti engeri Yesu gye yakozesaamu ekigambo “mazima,” oba amiina, ya njawulo ku biwandiiko ebirala ebitukuvu. Ekigambo ekyo bwe kikozesebwa emirundi ebiri (a·menʹ a·menʹ), nga bwe kikozesebwa mu nnyiriri eziwerako mu Njiri ya Yokaana, kivvuunulwa nti “mazima ddala.”​—Yok 1:51.

EBIFAANANYI NE VIDIYO

Ebifaananyi ne vidiyo ezitaliimu maloboozi, bijja kutuyamba okwongera okutegeera ebintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli.

Besufaage, Olusozi olw’Emizeyituuni, ne Yerusaalemi

Vidiyo eno eraga ekkubo eriyingira Yerusaalemi ku luuyi olw’ebuvanjuba, okuva mu kyalo kati ekiyitibwa et-Tur​—ekirowoozebwa nti ye Besufaage ekyogerwako mu Bayibuli—​okutuuka ku Lusozi olw’Emizeyituuni. Bessaniya kiri buvanjuba bwa Besufaage era nga kisangibwa ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’Olusozi lw’Emizeyituuni. Yesu n’abatume be bwe baagendanga e Yerusaalemi, baateranga okusula e Bessaniya, leero awali akabuga akayitibwa el-ʽAzariyeh (El ʽEizariya), erinnya ery’Oluwalabu eritegeeza “Ekifo kya Laazaalo.” Yesu ayinza okuba nga yasulanga mu maka ga Maliza, Maliyamu, ne Laazaalo. (Mat 21:17; Mak 11:11; Luk 21:37; Yok 11:1) Yesu bwe yavanga mu maka gaabwe ng’agenda e Yerusaalemi, ayinza okuba nga yayitanga mu kkubo eriragiddwa mu vidiyo. Yesu bwe yeebagala omwana gw’endogoyi ng’ayita ku Luzozi olw’Emizeyituuni nga Nisaani 9, 33 E.E., ayinza okuba nga yayita mu kkubo lye limu eriva e Besufaage okugenda e Yerusaalemi.

Ekkubo Yesu ly’ayinza okuba nga yayitamu okuva e Bessaniya okugenda e Yerusaalemi
  1. Ekkubo eriva e Bessaniya okugenda e Besufaage

  2. Besufaage

  3. Olusozi olw’Emizeyituuni

  4. Ekiwonvu Kidulooni

  5. Yeekaalu

Omusumaali mu Ggumba ly’Ekisinziiro

Eggumba ly’ekisinziiro ky’omuntu nga lifumitiddwamu omusumaali

Ekifaananyi kino kiraga ng’omusumaali ogwa inci 4 n’ekitundu gufumitiddwa mu ggumba ly’ekisinziiro ky’omuntu. Mu 1968, abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ekibumbe ng’ekyo ekiragiddwa mu kifaananyi kino mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi, era nga kyakolebwa mu biseera by’Abaruumi. Ekyo kiwa obukakafu nti ddala emisumaali gyakozesebwanga okukomerera omuntu ku muti. Omusumaali guno guyinza okuba nga gufaanana n’egyo abasirikale Abaruumi gye baakozesa okukomerera Yesu ku muti. Ekibumbe ekyo kyasangibwa mu ssanduuko eyakolebwa mu mayinja, era mu ssanduuko eyo mwalimu n’amagumba g’omuntu agaatekebwamu ng’omubiri gwe gumaze okuvunda. Ekyo kiraga nti n’abantu abaabanga bakomereddwa ku muti oluusi baaziikibwanga.​—Mat 27:35.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza