Ddesemba 18-24
ZEKKALIYA 9-14
Oluyimba 8 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Sigala mu ‘Kiwonvu Ekiri Wakati w’Ensozi’”: (Ddak. 10)
Zek 14:3, 4—“Ekiwonvu ekinene ennyo” kikiikirira obukuumi Yakuwa bw’awa abantu be (w13 2/15 lup. 19 ¶10)
Zek 14:5—Abo ‘abaddukira mu kiwonvu’ ekyo ne bakisigalamu bajja kufuna obukuumi (w13 2/15 lup. 20 ¶13)
Zek 14:6, 7, 12, 15—Abo abatali mu kiwonvu kya Yakuwa awali obukuumi bajja kuzikirizibwa (w13 2/15 lup. 20 ¶15)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zek 12:3—Yakuwa yafuula atya ‘Yerusaalemi ejjinja erizitoowerera amawanga’? (w07-E 12/15 22-23 ¶9-10)
Zek 12:7—Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’alisooka okulokola weema za Yuda’? (w07-E 12/15 25 ¶13)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zek 12:1-14
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) g17.6 14-15—Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) g17.6—Laga ng’ozzeeyo eri omuntu, nga ku mulundi ogwasooka mwakubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 14 ne 15 eza magazini eyo. Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) jl essomo 5—Muyite ajje mu nkuŋŋaana.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 7) Mulabe vidiyo ya Ddesemba erina omutwe, Ebikolebwa Ekibiina.
“Ekitundu Ekipya mu Lukuŋŋaana Olwa Wakati mu Wiiki”: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo etaliimu maloboozi eraga ekitundu kya Besufaage, Olusozi olw’Emizeyituuni, ne Yerusaalemi.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy lup. 6-7
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 13 n’Okusaba